Wikipedia
lgwiki
https://lg.wikipedia.org/wiki/Olupapula_Olusooka
MediaWiki 1.46.0-wmf.22
first-letter
Media
Special
Talk
User
User talk
Wikipedia
Wikipedia talk
File
File talk
MediaWiki
MediaWiki talk
Template
Template talk
Help
Help talk
Category
Category talk
TimedText
TimedText talk
Module
Module talk
Event
Event talk
Amabidde
0
12882
46949
2026-04-07T19:01:32Z
~2026-21545-43
10972
Okunnyonnyola Ku MABIDDE
46949
wikitext
text/x-wiki
Amabidde kiba kika mu matooke wabula nga go tegaliibwa mmere naye nga omulimu gwago guba gwa kuyiisa mwenge. Amabidde gano abamu bagayita kayinja abandi nti Musa wabula ekikulu kiri nti ebyo byonna bikozesebwa mu kusogola omwenge ogweyambisibwa mu kwabya olumbe era guno guyitibwa omwenge ogwessuunwa. Nga olumbe lubulayo Ssabiiti nga ziizo okwaba, Abatakansi nga bali wamu n'abantu okuva munju omugenda okwaba olumbe bagenda ne batema Embidde era ne baziwanika ku kibannyi abandi Embidde zino baaziziikanga mu ttaka n'ekigendererwa ekyokwengeza amabidde gano amangu. Nga embidde zengedde olwo ne bategeka okuzisogola nga beeyambisa eryato, oba olutyatya, essubi (olusenge) era n'omuwemba tegubulawo. Abasogozi omwonge guno bagulinyamu na bigere (Bagusogoza bigere) era Abaganda oluusi baguyita '''mwenge bigere. Lindirira ebirala nga emitendera............(Fredrick Muyanja Musajjawakabaka Balunginsimbi @ 0759157152)'''<ref>Fredrick Muyanja Musajjawakabaka Balunginsimbi @ 0759157152.</ref>
ps2tg3cdp1t25xj7br9tmftltf09j6m
46950
46949
2026-04-07T19:12:10Z
~2026-21545-43
10972
46950
wikitext
text/x-wiki
Amabidde kiba kika mu matooke wabula nga go tegaliibwa mmere naye nga omulimu gwago guba gwa kuyiisa mwenge. Amabidde gano abamu bagayita kayinja abandi nti Musa wabula ekikulu kiri nti ebyo byonna bikozesebwa mu kusogola omwenge ogweyambisibwa mu kwabya olumbe era guno guyitibwa omwenge ogwessuunwa. Nga olumbe lubulayo Ssabiiti nga ziizo okwaba, Abatakansi nga bali wamu n'abantu okuva munju omugenda okwaba olumbe bagenda ne batema Embidde era ne baziwanika ku kibannyi abandi Embidde zino baaziziikanga mu ttaka n'ekigendererwa ekyokwengeza amabidde gano amangu. Nga embidde zengedde olwo ne bategeka okuzisogola nga beeyambisa eryato, oba olutyatya, essubi (olusenge) era n'omuwemba tegubulawo. Abasogozi omwonge guno bagulinyamu na bigere (Bagusogoza bigere) era Abaganda oluusi baguyita '''mwenge bigere.
'''OMWENGE'''
Okusogola omwenge kikolwa eky'okuggya omubisi mu mbidde ez'enjawulo ne gugattibwamu ebintu ebirala ng'omuwemba okugufuula omuka. (Ekikolwa ky'okugatta omuwemba mu mubisi ogukamuddwa kiyitibwa OKUSIWA)
Wano mu Buganda, omwenge gukozesebwa mu ngeri ez'enjawulo era ng'ezimu ku zzo ze zino wammanga. 1. Gukozesebwa mu kugulana. Abantu mu butale obw'enjawulo bagulangana ebintu nga bakozeza omwenge. 2. Gukozesebwa mu kuwasa omukyala. Ku buko, omwami atwala ekita ky'omwenge okusasula omukyala. 3. Mu kwabya ennyimbe. Omwenge gweyambisibwa nnyo mu kwabya onnyimbe. Omukeeze (omujjwa) mu luggya ajja n'ekita/endeku ng'erimu omwenge ogunywebwa mu kufulumya olumbe. 4. Okusamirira ba lubaale. Bajajja babayita okujja okulagula n'okutegeeza abazukulu ebizibu byabwe nga bakozesa omwenge. 5. Mu kwalula abaana. Ng'ennyuba/ekika kitudde okwalula abaana abapya, omwenge era gweyambisibwa. 6. Ntabaluganda. Era ng'erinnya lya gwo, guyamba okuleetawo obwa sseruganda mu bantu bwe batuula awamu okunywa.(Guzimba enkolagana mu bantu) 7.Gukozesebwa mu kwambulula. Abantu abamu bwe baba bambulula ebisiraani bagukozesa. 8. Gukola ng'akabonera akagatta abantu abalamu n'abafu. Bwe guggya oba abantu nga baagunywa, basooka kuguyiwako ku ttaka nti ne bajajja abaatusooka weebali era bafuneko.
OKUSOGOLA OMWENGE
Omwenge omuganda gusogolwa mu bika by'embidde ez'enjawulo.omulimo gw'okusogola guyita mu mitendera mingi,omuli okuwanika kukibanyi amabidde oba okugaziika.oluvannyuma nga gengedde, ekinnya kisimibwa omunaasogolerwa amabidde gano. Kino kiyitibwa olutyatya era nga mu lutyatya mubaamu akannya akayitibwa akattiro. kano keekannya akakunganiramu omubisi ogusose okummuka.Omubisi gusobola okummuka mungeri y'abika bibiri,embalule ne nakavundira.Embalule gwe mubisi ogummukka nga gutukula ng'amazzi ate Nakavundira gwe gummuka nga mukwafu oba nga gwakitaka
(Fredrick Muyanja Musajjawakabaka Balunginsimbi @ 0759157152)'''<ref>Fredrick Muyanja Musajjawakabaka Balunginsimbi @ 0759157152.</ref>
mos1g4qa3qkc9yxblealnxpdjuqo1gb